Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,124 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abadde asobya ku bakazi n’abatta e Nansana poliisi emugombyemu obwala

August 4, 2017 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Nansana nga eri wamu n’abakambwe aba Flying Squad bakutte omusajja abadde asobya ku bakazi n’oluvannyuma n’abatta. 

Ekikwekweto mwekwatidde omusajja ono kitutte essaawa kkumi  era nga Police yakitandise matumbi budde okutuusizza ddala emisana nga bakyataganjula n’okufuuza omuzigo mw’abadde asula.

Obunkenke bubadde bwamaanyi ng’ omutemu ono akwatibwa, Poliisi ekozesezza embwa zaayo nga ne namunkanga zaayo ziri ku bwerinde gattako obumotoka bwa bbaasi obutera okutambuzibwamu abantu ab’omutawaana.

Oluvannyuma lwa Poliisi okuvumbagira omusajja ono, emufulumizza nga yenna emubisse ekinyiizizza abatuuze nga bagamba nti yandibadde ebaleka nebamukubako eriiso naye wakati mu kwecwacwana, bagambye nti omusajja ono bamumanyi nti era abadde waamutawaana nnyo.