Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,197 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abadde asinga obukadde ku kyalo yeetugidde mu Kisenge kye – Nakisunga

January 18, 2018 · Mubiru Ali

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Naluvule nga kino kisangibwa mu ggombolola y'e Nakisunga mu Disitulikiti Mukono oluvannyuma lw'okugwa ku namukadde Vincent Ngabo abadde  asinga obukulu ku kyalo ng'atemeza mu gy'obukulu 90 nga alengejjera ku muguwa mu kisenge kye.

Ono azuuliddwa mutabani we abadde amujjanjaba oluvannyuma lw'okulumbibwa ekirwadde kya Aniya ekirudde nga kimubala embiriizi ategeerekese nga Sande Kalema okumala okumusiimuula eddagala ekiro wabula bwebukedde okugenda okukebera omulwadde bweyasuze nga mufu wa jjo bw'atyo n'alaya enduulu esombodde ab'ewala n'okumpi okudduukirira.

Ye ssentebe w'e kyalo kino Doroth Nnabbanja alaze obw'ennyamivu olw'ekikangabwa ekigudde mu kitundu kye era wano w'asinzidde n'asaba abantu bonna obutasirikiranga bizibu wabula babigabane nga ne bannaabwe babasalire ku magezi.

Wabula Poliisi okuva e Sseeta Nazigo eyitiddwa okujja okwekebejja omugenzi  okuzuula kiki ekyamuviiriddeko okwejja mu bulamu bw'ensi.