Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 194 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abadde asindira omukwano mu nsiko agudde mu kabuyonjo

January 7, 2019 · Mubiru Ali

Omuwala atolose awaka n’agenda ku kyalo ekibaliraanye okulaba ku muganzi we. Eno omukwano gye gwabalinnyidde ne beesogga akasiko okwesanyusaamu. Wakati mu kunyumirwa ng’eno omuwala bwagabira muninkini we ebyalo, awulidde enswagiro ne bamanya nti bawedde. Baabunye emiwabo era buli omu yakutte lirye okukakkana ng’omuwala agudde mu kaabuyonjo.
Bino byabadde ku kyalo Kalagala mu ggombolola ye Bukabooli mu Disitulikiti
y’e Mayuge. Shamim Nyumbahe muwala wa Jamil Nyumbahe omutuuze ku kyalo kino ye yagudde mu kaabuyonjo. Yabadde agenze ku kyalo Kitovu mu ggombolola y’e Bukabooli okwesanyusamu ne muganzi we. Wabula mutuuze munnaabwe ategeerekeseeko
erya Jackson ye yataasizza Nyumbahe
gwe yaguddeko ng’alaajanira mu kaabuyonjo.