Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 225 listening Simba FM Live

Abadde alambula ekibanja okukigula atondose naafa

May 2, 2016 · Mubiru Ali

Ategeerekeseeko lya Moses okuva e Mutundwe mu Kampala abadde amaliriza okulambula ekibanja naagwa eri naafa. 

Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Nsaabwa ekiri mu ggombolola ye Butayunja mu Disitulikiti ye Mityana nga afudde abadde alambuzibwa ekibanja nga kya mugenzi Kisitu Lawrence batabanibe.

Nga bamalirizza okulambula ekibanja,  omusajja ono ateeberezebwa okuba mu myaka 33-35 atandise okuvaamu omusaayi gattako okukolola era naakataayi tekasaze nakkirira e kalannamo.

Wabula abantu babadde batandise okubitebya nti lyaliba eddogo wabula obooluganda lwomugenzi ne bagamba nti omusajja abadde n’ekirwadde ky’omutima nga yaaliba yeerabidde okumira eddagala ng’ava awaka.

Lino litusakiddwa Joseph Balikuddembe e Mityana.