Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 543 listening Simba FM Live

Ababbye obululu mu kamyuufu nabawadde enaku 3 – Pulezidenti Museveni

September 11, 2020 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ku kyokubba obululu, nawadde abo bonna abakikoze ekisonyiwo kyanaku ssatu okutandika n’olunaku lw’eggulo nga 10-Sept okuvaayo beteereze. Bwetagoberera kino, tujja kulangirira ebyavuddemu ebituufu ate bali ababba tubavunaane.
Mu disitulikiti ezirimu okubuusabuusa, okuddamu okubala obululu kukolebwa, okugeza nga e Kiruhura twekeneenyezza obululu okuva mu byalo 151 nga tusigazaayo 60. Tujja kukola okusalawo okwenkomeredde.
Mu byalo okulonda gyekutaali olw’ensonga emu oba endala kujja kubaayo.
Ba Ssentebe ba National Resistance Movement – NRM aba Disitulikiti tebalina kubeera naludda mu kamyuufu, naye nga mu byonnga tulina okugoberera amateeka mu Kibiina.” #NRMPrimaries