Ababbi 3 batiddwa e Ndejje

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwetandise okunoonyereza ku bubbi n’ettemu ebyabaddewo nya 18-January-2024 ku ssaawa kumi nabbiri ezolweggulo e Ndejje Kibutika mu Makindye Ssabagabo Municipality, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti abakozi ba Shana Distributors Ltd, Kikuubo, okuli; Galabuzi Haruna (Ddereeva), Babirye Patricia (Kitunzi), ne Mfitumukiza Henry (Mutikkuzi), balumbiddwa ababbi ababadde babagalidde emmundu bwebabadde batambuza ebintu nga bulijjo. Bano babalagidde okubawa ssente ekyavuddemu okulwanagana wakati w’abakozi n’ababbi. Ababbi bakubye Babirye Patricia essas mu kugulu, nebamutwalako ssente eziri eyo mu bukadde 20 ezabadde mu motora. Ababbi babadde batambulira ku piki piki nnamba UES 820K.
Bano bakubye enduulu era nabatandika okugoba ababbi bano abasudde piki piki okukakana nga abatuuze wamu n’aba booda booda e Namasuba bakutte ababbi bano. 2 ku bagambibwa okubeera ababbi bafiiriddewo olw’ebisago ate omulala nafa nga yakatuusibwa e Mulago.
2 ku bano bebategeerekeseeko nega kuliko; Bakka Mark ne Ssemanda Brain. Poliisi yasobodde okufuna emmundu gyebabadde bakozesa wabula ekyenaku ssente zebabadde babbye tezinazuulwa nga kirowoozebwa nti abantu abazze okugoba ababbi bebazitutte.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

1 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

23 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon