Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 169 listening Simba FM Live

ABABAKO BAGOBEDDWA KU POLIISI E MASAKA

September 6, 2021 · Mubiru Ali
ย 
Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform okuli nakulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, MP Zaake Francis Butebi, Ssewungu Gonzaga, ababadde bawerekedde ku Babaka banaabwe abayitiddwa Uganda Police Force e Masaka bagobeddwa okuva ku kitebe kya Poliisi eno.
Omubaka Mpuuga atgezeezza nti Bannamateeka okuli Ssaalongo Erias Lukwago wamu ne Shamim Malende gyebali munda okubaawo nga Ababaka bakola sitaatimenti. Ono asabye Poliisi ekole omulimu guno mu ngeri eyekikugu.
Ye Omubaka wa Kalungu West Hon Ssewungu agugumbude abasirikale ba Poliisi nga agamba nti balemereddwa okukuuma Bannayunganda n’amaggye ga UPDF gatuuse n’okuwamba ekitebe kya Poliisi.
Ye Omubaka Zaake agambye nti wadde babagobye naye abalindidde mu Palamenti naye abalageko.
Mu kiseera kino amakubo agasinga gagaddwa mu Kibuga Masaka nga tebakiriza muntu yenna kusemberera Poliisi nga waliwo n’abantu abakwatiddwa nga balangibwa okuyita okumpi ne Poliisi.