Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 273 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

ABABAKA SSEGIRIINYA NE SSEWANYANA BETAAGA BUJANJABI N’EDDEMBE LYABWE – HON. KYAGULANYI

October 18, 2021 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Olwaleero nga ndi wamu ne banange David Lewis Rubongoya ne Hon. Joel Ssenyonyi, tugenzeeko mu kkomera lya Kigo Government Prison okulaba ku banaffe, Hon. Allan Ssewanyana ne Hon. Muhammad Ssegirinya. Tubasanze bakyali bagumu wabula nga balwadde.
Hon. Ssegiriinya ekigere kye tekinawona nga kyakosebwa oluvannyuma lwokukwatibwa obubi abebyokwerinda abatambulira mu ‘drone’.
Ababaka batubuulidde nga bwebatulugunyizibwa abebyokwerinda nga tebanazzibwa ku alimanda mu kkomera e Kigo.
N’okutuusa olwaleero, Gavumenti nevaayo nabujulizi bwankukunala buluma baganda baffe bano.
Bano nebwebaweebwa ‘bail’, Ababaka baddamu nebakwatibwa. Tukimanyi nti kino bakikola kusiba ku NUP emisango egyenjawulo. Twagala bano bateebwe.”