Ababaka mu Palamenti balabudde bannaddiini ku ky’ekkomo ly’emyaka gya Pulezidenti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Waliwo abamu ku babaka mu Palamenti abasabye abakulembeze b’enzikiriza nti ensonga ezikwatagana n’emyaka gya Pulezidenti n’akawaayiro 102(b) bagwanidde okubyetegula.

Ababaka babadde boogera bino nga beekuusa ku bikwatagana n’okubatizibwa kwa Pulezidenti Museveni nga bino biva mu Kkanisa ey’Omutukuvu Lukka, mu Kanoni Church of Uganda e Rwampara mu Disitulikiti y’e Mbarara ebyoleka nga yazaalibwa mu 1947 ate obutakwatagana ne 1944 nga bwebiwandiikiddwa mu biwandiiko bye ebitongole.

Ababaka abavuddeyo ku kino mwemuli Theodore Ssekikubo akiikirira Lemiyaga mu Disitulikiti y’e Ssembabule, ┬áMoses Kasibante akiikirira Lubaga ey’amambuka agamba nti bannaddiini abantu batuuse okubaggyamu obwesige olwa kino.

Share.

Leave A Reply