Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 269 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ababaka b’oludda oluwakanya batandise okusomesa abantu ku bbago ly’etteeka ly’ettaka

July 21, 2017 · Mubiru Ali

Abamu ku babaka mu Palamenti abooludda oluwakanya Gavumenti nga bakulembeddwamu Winnie  Kiiza abakulira mu Palamenti, enkya ya leero basimbudde okuva ku Palamenti okutandika kaweefube waabwe ow’okusomesa abantu ku bikwata ku bbago ly’etteeka ly’etteeka ery’omwaka 2017 eriwa Gavumenti enkizo okutwala ettaka ku bannyimilyo nga tesoose kubaliyirira bweba eyagala okubaako by’ekolerako.

Akawungeezi k’eggulo Omubaka Kiiza yategeezezzza ab’amawulire nti enteekateeka eno egendererwamu kulaga balonzo nti singa ennongoosereza eno eneemala n’eyisibwa nerifuuka tteeka, Bannayuganda banaaba eky’obugagga kyebasigazza nga ettaka bakifuuye mu ngombe. Era bwatyo n’ategeeza nti bagenze kutandikira mu bitundu by’ e Masaka olwo balyoke  batalaage n’ebitundu  ebirala.