Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 143 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Ababaka beeyamye okukolagana ne Minista wa Kampala .

July 8, 2016 · Mubiru Ali

Ababaka mu Palamenti aba Kampala beeyamye okukolagana ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Betty Kamya  basobole okukulaakulanya ekibuga obulungi .

Okutuuka ku kino babadde mu lukungaana ku kizimbe kya Palamenti mwebasisinkanidde Minisita wa Kampala Betty  Olive Namisango Kamya ne Minisita we omubeezi  Benny Namugwanya .

Ababaka abakola Kampala mulimu Latiff Ssebaggala owa Kawempe ey’amabuka , Muhammad Nsereko ow’amasekkati ga Kampala ,Kato Lubwama Lubaga ey’amaserengeta n’akiikirira Kawempe ey’amaserengeta Mubarak Munyagwa n’abalala nga bonna baanirizza enkolagana eno .

Ye Minisita Kamya agamba nti waakugendera ddala mu maaso n’okukuba enkungaana ez’engeri eno  n’abo bonna abavunaanyizibwa ku Kampala kibayambe ku ngeri gyebanaakulaakulanyaamu ekibuga .