Ababaka beerabira abantu bebakikirira – Barbie

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kyagulanyi Barbie Itungo mukyala w’omubaka Kyagulanyi Robert Ssentamu (Bobi Wine) ku ky’omusolo ogwatekeddwa ku Social Media ne Mobile Money agamba nti kino kiva kukuba nti Ababaka abamu besuula abalonzi baabwe era tebabebuuzaako. Bwebamala okubalonda baddamu kulaba nga banoonya kalulu kalala.

Agamba nti abakulembeze betulina bakulu nnyo mu myaka ate abalala bagagga nnyo tebategeera bizibu bya muntu wawansi, omugaso gwa Social Media n’engeri Mobile Money gyeyambamu okugonza obulamu bw’omuntu wawansi kuba bbo balina n’obusobozi obukubira abantu essimu nebabalagira batwala ssente webaagala nga tebasasudde musolo gwonna.

Share.

Leave A Reply