Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 221 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ababaka bayisiza ekiteeso ky’omusolo ku Social media ne Mobile money

May 31, 2018 · Mubiru Ali

Ababaka ba Palamenti bayisiza ekiteeso eky’okujja omusolo ku mobile money wamu ne mikutu gya social media. Kino kitegeeza nto buli muntu anakozesa emikutu egya social media okuli WhatsApp, Facebook, Viber ne Skype n’emirala mingi ajakuba alina okusasula shs 200 buli lunaku wamu n’ebitundu 1 ku 100 ku buli ssente z’oweereza n’okuggyayo era nga gavumenti esuubira okukungaanya obuwumbi 284 okuva mu misolo gino.

Emisolo emirala egyayisiddwa kwekuli shs 200 kubuli litre ya buto, shs 100 ku buli litre ya diesel ne petrol, shs 650 ku buli litre ya beer, n’ebirala bingi.