Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 196 listening Simba FM Live

Ababaka Bannakibiina kya NRM begasse ku National Unity Platform

August 3, 2020 · Mubiru Ali
Olunaku olwaleero ekibiina kya National Unity Platform ekikulemberwa Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kyaaniriza Ababaka abaggya ne ba Meeya abamwegaseeko. Bano kuliko; Omubaka Patrick Nsamba owa Kasanda County North nga abadde Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM, Lukyamuzi David Kalwanga – Busujju County, John Baptist Nambeshe owa Manjiya County nga abadde munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM, Latif Ssebaggala Ssengendo – Kawempe North nga abadde Munnakibiina kya Democratic Party Uganda, Meeya wa Kawempa Emmanuel Sserunjogi Owenddembe ngabadde Munnakibiina kya Democratic Party Uganda – DP, Meeya wa Nakawa Eng. Ronald Balimwezo Nsubuga, Meeya wa Makindye Kasirye Nganda Ali Mulyanyama ne Meeya wa Katabi Town Council Omulangira Ronald Kalema.