Ababaka Bannakibiina kya FDC mudde mu Palamenti muve ku bya Mpuuga – Nsibambi

Nampala wa Babaka ba Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi Yusufu Nsibambi alagidde ababaka ba FDC okuddayo bakiike mu ntuula za Palamenti mu bwangu ddala, bave mukwekandagga nga bwebaalagirwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti.
Nsibambi ategeezezza nti ekibiina kyasoose kutuula ne kyekenneenya ensonga eno era nekisalawo Ababaka baakyo badde mu Palamenti bateeseze abantu bebakiikirira.
Nsibambi ayongeddeko nti ebintu bingi ebigenda okuyita nga binyigiriza abantu abaabalonda era naawa eky’okulabirako eky’embalirira y’Eggwanga ey’omwaka ogujja 2024/2025 egenda okuyisibwa nga n’olwekyo tebayinza kusigalira mabega nga tebawaddeeyo birowoozo byabwe olw’okuba bali mu kwekandagga.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Kitalo! 
Kigambibwa nti abantu 4 bandiba nga bafiiridde mu Takisi nnamba UBA 463V ekutte omuliro olweggulo lwaleero mu Kibuga Jinja 14 nebabuukawo nebisago ebyamaanyi. 
Takisi eno ekwatidde omuliro ku Clive Road West (Kampala stage).

Kitalo!
Kigambibwa nti abantu 4 bandiba nga bafiiridde mu Takisi nnamba UBA 463V ekutte omuliro olweggulo lwaleero mu Kibuga Jinja 14 nebabuukawo nebisago ebyamaanyi.
Takisi eno ekwatidde omuliro ku Clive Road West (Kampala stage).
...

54 9 instagram icon
Mbu agezezzaako okumwanukula mu ngeri ey'obuntubulamu! Naye alinga anyiize ennyo?!

Mbu agezezzaako okumwanukula mu ngeri ey`obuntubulamu! Naye alinga anyiize ennyo?! ...

22 0 instagram icon
Sureman Ssegawa abakowoola mwenna gyemuli okujja okumunazaako omukka gwobunnyama mu concert ye gyatuumye mbulamu ekitwalo concert ku Makutano e Nansana nga 20-July. Tomusubwa

Sureman Ssegawa abakowoola mwenna gyemuli okujja okumunazaako omukka gwobunnyama mu concert ye gyatuumye mbulamu ekitwalo concert ku Makutano e Nansana nga 20-July. Tomusubwa ...

5 0 instagram icon
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya ngayogera ku nsisinkano gyebalimu ne Uganda Police Force ngebalambika bwebalina okutambula ku nguudo nga bagenda mu nkungaana zaabwe.

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya ngayogera ku nsisinkano gyebalimu ne Uganda Police Force ngebalambika bwebalina okutambula ku nguudo nga bagenda mu nkungaana zaabwe. ...

33 1 instagram icon
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo neyessammula kukyokumanya ku Bataka abagenda e Namibia. Ono agamba ekyokulwala kwa Kabaka yali takimayiiko nga yakitegeera Abataka lwebamusisinkana. Ono asabye Bannayuganda okukomya okuswaza Eggwanga lyattu.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo neyessammula kukyokumanya ku Bataka abagenda e Namibia. Ono agamba ekyokulwala kwa Kabaka yali takimayiiko nga yakitegeera Abataka lwebamusisinkana. Ono asabye Bannayuganda okukomya okuswaza Eggwanga lyattu. ...

46 3 instagram icon