Ababaka balowooza nti omusolo mutono olw’okuba bagagga – Hon. Nsamba

Omubaka wa Kassanda County North mu Lukiiko Olukulu olw’Eggwanga nga wa NRM PATRICK NSAMBA agamba nti Ababaka tebandilowozezza nnyo kukya kwongeza nnyingiza ya ggwanga ku musolo nga berabira abantu abawansi bebanyigiriza.

Agamba nti Bannayuganda bangi ebitundu 61 ku kikumi baweereza ssente eziri wansi w’e 45,000/= ekitegeeza nti omusolo guno gugenda kunyigiriza muntu wawansi so ssi bagagga.

Ayongedde nagamba nti kyangu omubaka wa Palamenti okugamba nti ezo ssente ntono olw’okuba nti bafuna nnyingi so ng’abantu bebakiikirira tebasobola kufuna yadde Dollar emu olunaku. Nabwekityo nti bwebatuula nebasigala nga bawoza nti ssente zino ntono nnyo bagenda kunyigiriza bantu baabwe ababatuma.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
tukoze abalabe bangi okusinga emikwano – katuntu