Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 559 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

ababaka baleeta etteeka ku banannyini ttaka abebalama obusuulu

February 22, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kassanda South, Simeo Nsubuga n’owa Mityana South; Henry Kamya Makumbi basabye Palamenti okubawa obuyinza bakole ennoongosereza mu tteeka ly’ettaka naddala mu kawaayiro 32(a) k’ebyettaka .
Nsubuga yategeezezza nti amyuka sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah yabasabye okukwatagana ne Minisitule evunaanyizibwa ku by’ettaka okulaba nga batuuka ku nzikiriziganya mu nnongosereza zino bw’atyo n’abawa ennaku 45 okudda eri Palamenti okubategeeza ekituukiddwako ku nsonga eno.
Mu lukung’aana lw’abaamawulire olutuuziddwa ku Palamenti, Simeo Nsubuga ategeezezza nti bannannyini ttaka abasinga babadde basusse okukijjanya n’okusengula abeebibanja n’abatuuze nga beekwasa nga bwe balemeddwa okubasasula obusuulu n’agamba nti wabula kizuuliddwa ng’abasinga ku bo ensimbi zino bazigaana ne badda mu kwebuzabuza n’ekigendererwa okugobaganya abeebibanja ku ttaka.