Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 842 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

ababaka bakubaganye empawa ku byobugagga byabakulu ba bbanka enkulu

December 14, 2018 · Mubiru Ali

Ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gaveumenti aka COSASE keyawuddemu ku nsonga yokwanika ebyobugagga bw’abakungu ba Bbanka enkulu mu Ggwanga. Omubaka wa Aruu County Odonga Otto yasabye ssentebe w’akakiiko kano Abdul Katuntu amukirize alage eby’obugagga byamyuka Ssenkulu wa Bbanka enkulu Louis Kasekende.
Era Otto yasabye akakiiko akalage ekiwandiiko ekiraga mukyala wa Kasekende nga bweyafuna akawumbi kamu n’obukadde lwenda okuva mu Marx Advocates Kkampuni yabannamateeka abaweebwa omulimu mu kutunda Crane Bank nga bagiguza DFCU.
Era Otto yalaze akakiiko ebiwandiiko ebiraga nga Kasekende nga bwalina eby’obugagga ebyenjawulo ebiwerera ddala 72 nga 20 biri mu mannya ge. Omubaka Medard Ssegona yasabye Ssentebe okugira nga aleka ebiwandiiko bino okutuusa nga babyetaaze mu kunoonyereza so nga ye Elijah Okupa yasabye Ssentebe akirize Omubaka Otto aleete ebiwandiiko bino wabula ye Katuntu yasabye wateekebwewo akakiiko ka bantu 3 basooke bekeneenye ebiwandiiko bino nga tebinaleetebwa mu kakiiko.