Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 605 listening Simba FM Live

Ababaka baagala Minisita Aceng atwalibwe mu kakiiko k’empisa

July 13, 2020 · Mubiru Ali
Waliwo Ababaka ba Palamenti okuli; Ssewungu Joseph Gonzaga, Allan Ssewanyana, Moses Kasibante n’abalala bavuddeyo nebategeeza nga bwebaagala Minisita w’Ebyobulamu Hon.Dr.Jane Ruth aceng atwalibwe ku kakiiko k’empisa olw’okumenya ebiragiro by’okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19.
Bino bizzeewo oluvannyuma lw’akatambi akafulumiziddwa nga kalaga Minisita ali mu kibinja ky’abantu nga ayogerako gyebali mu Lira Municipality nga bamusemberedde nga ye ne bano tabambadde mask.