Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
News
Ababaka ba Opposition betemyeemu ku kyentuula
November 16, 2023 · Mubiru Ali
Waliwo Ababaka abamu ku ludda oluvuganya Gavumenti abavuddeyo nebategeeza nti bejjusa okugaana okugenda mu ntuula za Palamenti nga bagamba nti ekyobutabaawo mu Palamenti kyawadde Gavumenti omukisa okuyiza ebbago lya Petroleum Supply Amendment Bill, eryawadde Uganda National Oil Company Limited ebbeetu okuleeta amafuta mu Ggwanga nga bagamba nti kino kiyinza okuleetera emiwendo gy’amafuta okulinnya.