Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 552 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ababaka ba NUP bayimbuddwa dda tetubalina – Frank Baine

February 13, 2023 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole kyamakomera Frank Baine avuddeyo nategeeza nga Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform Allan Ssewanyana ne Ssegiriinya Muhammad bayimbuddwa dda era tebakyali mu mikono gyabwe oluvannyuma lwekitongole kyamakomera okuweebwa empapula za Kkooti eyabayibudde.

Wabula Abantu bakyali ku kkomera e Kigo nga babalindirira omuli ne Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya agamba nti tebanabalabako.