Breaking
News: Omulondo mbu bwogulya ogejja ekitalabika! Omuwuulu ye musajja ayita ku ndiga ensajja nemulaawa! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa manyumya nebiwooma girindirire buli kiro ku ssaawa nnya. News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Balaam Barugahara Ateenyi alidde matereke nomukulu wessomero.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 412 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM
News

Ababaka ba NRM 3 basindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira

June 21, 2024 · Mubiru Ali

Ettuntu lyaleero Akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne bambega ba Uganda Police Force wamu ne Offiisi ya DPP batutte Ababaka ba Palamenti 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM mu Kkooti okuli; Hon. Mawanda Micheal Maranga owa Igara East Constituency mu Disitulikiti y’e Bushenyi, Hon. Wamakuyu Ignatuis Mudimi owa Elgon County e Bulambuli ne Hon. Akamba Paul owa Busiki County mu Disitulikiti y’e Namutumba ne Munnamateeka Kirya Julius owa Kirya and Company Advocates nebavunaanibwa emisango okuli okuwuwutanya ensimbi wamu n’okwekobaana okunyaga ensimbi. Kigambibwa nti bano bekobaana nebanyaga ensimbi obuwumbi 3 mu obukadde 400 ezaalo ezokuliyirira ekibiina kyobwegassi ekya Buyaka Growers Cooperative Society olwokufiirwa ebintu byabwe mu lutalo. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 9 July 2024.
Bya Christina Nabatanzi