Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nawakanya ekyokuwumuza Omubaka Munnakibiina kya Forum for Democratic Change akiikirira Kira Municipality Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda ku kifo kya Nampala w’Ababaka Bannakibiina kya FDC mu Palamenti oluvannyuma lw’abamu ku Babaka banne okuvaayo nebekubira enduulu eri Palamenti nga bawakanya ekyuukakyuuka ezakoleddwa Ssaabawandiisi Nandala Mafabi gwebagamba nti teyasoose kwebuuza ku National Executive Committee eya FDC.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.