Ababaka abawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka bakyankalanyizza Palamenti, ejulidde nkya

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa Palamenti okutuusa olunaku lw’enkya oluvannyuma lw’ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti okukyankalanya nga entabwe eva ku kiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.¬†

Ababaka ab’oludda oluvuganya Gavumenti batandise okukooloobya Oluyimba lw’eggwanga wamu kitole¬† nga tebasiriikirizaamu okumala akaseera , Oluvannyuma lw’omubaka akiikirira Busiro ey’obuvanjuba, Medard Lubega Ssegona n’akiikirira Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo okusimbira ekiteeso kino ekkuuli.

Bwatyo Sipiika n’awalirizibwa okwongezaayo olutuula okutuusa olunaku lw’enkya.

Share.

Leave A Reply