Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 256 listening Simba FM Live

Ababaka abakozesa abasirikale ababakuuma okutulugunya ababavuganya balabuddwa

September 1, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi w’eggye lya Yuganda (UPDF Spokesperson) erya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF Brig. Gen. Flavia Byekwaso avuddeyo nategeeza nti bakitegeddeko nga bwewaliwo ababaka ba Palamenti abaweebwa abakuumi abasirikale ba Millitary okubakuuma mu kadde webaali batandise okubalumba mu 2019 wabula batandise okubakozesa mu bukyaamu mu kaseera kano akokunoonya obululu.
Kino kikontana n’ensonga lwaki babaweebwa nga kyadireetawo okulwanagana wakati wabesimbyeewo.
N’olwensonga eyo olukiiko lw’amaggye olwokuntikko lulagidde nti abasirikale bano tebalina kukozesebwa mu byabufuzi era oyo yenna anabakozesa bajja kubamuggyako. Ekiragiro kino kigenda n’eri abo abaagala okwesimbawo nga balina emmundu oba nga bakuumwa abalina emmundu.