Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,106 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Ababaka ababadde bawakanya okugikwatako batongozza K’OGIKUTTEKO

December 21, 2017 · Mubiru Ali

Nga aba NRM bakyajaganya olw'okuyisaawo etteeka eriggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti gamba Okugikwatako nga bw'ebadde yafuuka engombo, bo ababaka abawakanya kino batongoza K'OGIKUTTEKO okuwakanya ebyabaddewo.

Nga bakulemberwamu akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Hon. Winnie Kiiza bagamba nti boolekera kkooti okuwakanya ebyo ebyayisiddwa babaka bannaabwe omuli n'ekyokwongezaayo ekisanja ky'ababaka  okuva ku myaka etaano (5) kidde mu myaka musanvu (7)

Ye John Baptist Nambeshe omubaka akiikirira essaza ly'e Manjiya asekeredde babaka banne abaawagidde kino era n'abageraageranya ku Yuda Iscariot eyalyamu omwana wa Katonda olukwe nabwekityo nabo baalidde mu bantu baabwe wamu n'eggwanga olukwe era ebyo byebalowooza nti baafunye eky'emyaka omusanvu ku kisanja , ebyo byoya bya nswa.