Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 181 listening Simba FM Live
News

Ababaka 3 basindikiddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi

June 12, 2024 · Mubiru Ali
Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM okuli; Yusuf Mutembule, Paul Akamba ne Cissy Namujju olunaku olwaleero batwaliddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi e Nakasero bavunaanibwe emisango gyobulyake.
Kigambibwa nti bano nga 11-May-2024 ku Hotel Africana mu Kampala basaba Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya ebitundu 20 ku 100 ku nsimbi ezateekebwa mu mbalirira y’Eggwanga nga zakuweebwa ekitongole kyakulebera mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/25 nga bagamba nti bakola kyamaanyi nnyo okulaba nti Akakiiko akavunaanyizibwa ku byembalirira mu Palamenti kakiriza okwongeza ku mbalirira ya UHCR.