Ababaka 25 bawereddwa mu Palamenti okumala entuula 3

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Sipiika wa Plamenti, Rt. Hon. Rebacca Alitwala Kadaga aweze ababaka abiri mu bataano (25) okumala entuula za Palamemnti ssatu nga tebalabikako lwa kusiiwuuka mpisa. 

Abawereddwa be bano; Ronald Kibuule, Allan Ssewanyana, Amoding, Sam Lyomoki,  Moses Kasibante, Betty Nambooze, Robert Kyagulanyi, Francis Zaake, Kasozi, Nzohgu , Olanya, Angellina Osegge, Niwagaba, Odonga Otto, Nandala Mafabi, Mubarak Munyangwa, Nambeshe, Mbwatekamwa,  Mugume , Gonzaga Ssewungu, Barnabas Tinkasiimire, Muwanga Kivumbi ne Medard Lubega Ssegona.

Wabula ababaka bano basimbye nakakongo era nebagaana okufuluma ekizimbe kya Palamenti ,  wano Sipiika n’ayimiriza olutuula okumala eddakiika asatu era wano ab’ebyokwerinda ebikuuma Pulezidenti (SFC) ne Police erwanyisa obutujju n’etandika okufulumya omu ku omu mu  wakati mu kulwaganaga okw’amaanyi okubaddemu okuwanyisiganya enguumi, okukasuka obutebe, okumenya emizindaalo kwebateeseza nga n’abamu ku babaka bazirise.

Bo ababaka abafulumiziddwa batwaliddwa mu bifo eby’enjawulo omuli Kireka ku Special Investigations Division .

Share.

Leave A Reply