ababadde bava okuziika basimattuse akabenje

Ab’oluganda bana ababadde bava okuziika eyaliko omubaka wa Palamenti, Dr Herbert Lwanga n’abasaabaze abalala 14 baasumatukidde watono okufiira mu kabenje ka Fuso eyalemereddwa okulinnya akasozi n’okusiba n’etomera mmotoka endala bbiri ng’edda ekyenyumanyuma.
Akabenje kano kaabaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku kasozi k’e Masaba e Bukulula ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.
Kaavudde ku loole ekika kya Fuso magulukkumi nnamba UAJ 034H eyalemereddwa okulinya akasozi n’egaana n’okusiba ekyagiviiriddeko okudda emabega n’ekalabula takisi nnamba UBA 144B n’eya buyonjo nnamba UBD 141U.
Geoffrey Matovu eyabadde avuga FUSO eno yasImatusse n’aboluganda lwe; Aminu Jjaggwe, Sylivia Nnakakande ne Florence Ssenoga ab’e Salaama – Munyonyo mu Kampala
Ate ddereeva wa takisi, Paulo Kateregga yawonye n’abasaabaze be 14.
Poliisi e Lukaya mmotoka yaziggyewo n’ezitwala ku kitebe kyayo

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply