Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 56 listening Simba FM Live

Ababadde batigomya Kampala n’emiriraano bakwate

July 13, 2018 · Mubiru Ali

Abantu abasoba mu 2321 be bakwatiddwa mu Kampala n’emiriraano mu myezi 6 egiyise lwakwenyigira mu bubbi, okukuba ebiccupuli, obufere wamu n’okukozesa ebiragalalagala.

Poliisi nga ekulembeddwamu Kafeero Moses Kabugo adduumira Poliisi mu Kampala n’emiriraano nga ali wamu n’omumyuka we Denis Namuwooza bakola ekikwekweto kya week nnamba wabula mu kiro kimu kyokka bakwata ababbi ababbira ku nguudo mu Kampala 1300 nga bano bali bateega abantu ku makubo nebababba nga bakozesa obwambe okusala obulago oba okubafumita mu mbiriizi nga tebanabayingiza mu nkuubo z’ebizimbe ebyenjawulo.
Mubakwatiddwa mulimu n’omukyala Vivian Nakakumba, nga ono mutuuze w’e Kampala, nga ono abadde atambula mu bank ez’enjawulo nga asiba abantu Dollar ez’ebiccupuli, ono yakwatibwa Kyotera oluvannyuma lw’okubba Joyce Mbabazi emitwalo 700,000/= ku kings betting e Lyantondo. Mbabazi yatemezza ku Poliisi nga amulabye agezaako okubba abantu e Kyotera mu nkola y’emu.