Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 793 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abaawa South Sudan ebintu bonna basasulwe Gavumenti – Palamenti

April 4, 2018 · Mubiru Ali

Palamenti ekkirizza Gavumenti okusasula abasuubuzi abaawa South Sudan ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa wakati wa 2008 ne 2010

Kino kijjidde mu kiseera nga wabaddewo akabugumu mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno nga ababaka basimbira ekkuuli ekya Gavumenti ky’ebadde nakyo eky’okusasulako amakampuni kkumi gokka gebaawa Palamenti oluvannyuma lw’akasambattuko akaabalukawo mu ggwanga lino okusasula nekujjamu omukoosi  nga ssente ziri eyo mu buwumbi 151 .

Ezimu ku kkampuni ezikakasiddwa zisasulwe mulimu; Aponye Uganda, Kibungo Enterprises,  KK Transporters, Ropani International Company , APO General Agencies n’endala

Omubaka mu Palamenti owa Kyotera ategeezezza Palamenti nti Gavumenti yagenda mu ndagaano nga y’akusasula amakampuni 13 nga n’olwekyo tekiba kya bwenkanya n’akatono okusasulako kkumi zokka endala nezisigala neemagaza.