Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 884 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abaatulugunya Meeya w’e Kamwenge bubakeeredde

May 15, 2017 · Mubiru Ali
Police egamba nti ba Ofiisa baayo abana abakwatibwa nga beebateeberezebwa okuba nga beebaatulugunya Meeya wa tawuni kkanso y’ e Kamwenge, Godfrey Byamukama, baamaze dda okugombebwamu obwala era nga kati bali ku kitebe kya Police ekya Police Standard Unit bagololwe ettumba.
Byamukama yakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku kuttibwa kwa eyali omwogezi w’ekitongole kya Police Andrew Fellix Kaweesi, omukumi we wamu ne ddereeva we nga bano battibwa nga 17 mu mwezi gwa Mugulansigo omwaka guno.
Byamukama yalabikako mu ddwaliro e Nakasero nga alina ebiwundu abyamaanyi ebigambibwa okuba nga byamutuusibwako Police bweyali mu kaduukulu kaayo ak’ Nalufenya mu Disitulikiti ey’ e Jinja.
Omwogezi wa Police mu ggwanga Asan Kasingye asinzidde mu lukungaana lwa Bannamawulire mu Kampala , n’ategeeza nti Byamukama yasiibulwa okuva mu ddwaliro naye nazzibwayo e Nalufenya nga abaamukolako ebikolwa ebyo bagenda kukolebwako ng’obuyinza bwebulagira