Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 106 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abaasuula embizzi ku Palamenti bateereddwa .

September 23, 2016 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kkooti ento ku luguudo Buganda , Marion Mangeni akkirizza abavubuka babiri eb’ekiwayi kya Jobless Brotherhood abavunaanibwa okusuula obubizzi ku Palamenti nga bwasuulibwawo lwakuna lwa ssabbiiti ewedde okweyimirirwa .

Abavubuka bano Luuta Ferdinand ne Joseph Lukwago, Omulamuzi abalagidde okusasula emitwalo ataano (500.000) ezoobuliwo buli omu nga akakalu ka kkooti era akakwakkulizo okubawaliriza okudda ku kkooti . Bo abana ababeeyimiridde balagiddwa okussa omukono ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano ezitali za buliwo okufuba okulaba nga babasobozesa okudda mu kkooti nga 18 Mukulukusabitungotungo, 2016

Wabula ng’omulamuzi tannabakkiriza kweyimirirwa, abalabudde obuteetantala  kwenyigira mu bumenyi bwa mateeka bwonna era singa banaakikola, okweyimirirwa kwabwe kwakusazibwamu .

Kinajjukirwa nti abavubuka bano Luta ne Lukwago bamaze ssabbiiti nnmba ku alimanda e Luzira ku misango gy’okweyisanga ekitagasa mu bantu wamu n’okutaataaganya eddembe ly’ebisolo wamu n’okubitulugunya nga babisiiga langi nga kw’otadde n’okubitwala mi bifo mwebitalina kubeera .