Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,632 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abaana bagudde ku mmundu mu kasiko – Luweero

May 1, 2017 · Mubiru Ali

Abaana ababadde batwala ennyana ku ttale bagudde ku mmundu nga ekwekeddwa mu kasiko.

Emmundu eno esangiddwa ku Sande ku kyalo Bukuma ekisangibwa mu ggombolola  y’ e Luweero mu Disitulikiti y’e  Luweero nga kika kya AK47 era ebaddemu n’amasasi  29.

Aduumira Police mu Disitulikiti y’ e Luweero , Paul Wataka agamba nti abaana bano olulabye emmundu eno nebadduka za mbwa okutemya ku Police e Kasana era nayo neesitukiramu ng’eyatega ogwekyayi era bagenze okugigezesa nga ebadde ekozesebwa.

Kino okubaawo wabadde wayise nnaku bunaku nga abatamanyangamba balumbye omuserikale Jonh Sserwanga nebamunyagako emitwalo 820.000 ku mudumu gwemmundu.