Abaana ababiri abaali bawambiddwa bazuuliddwa

Abaana ababiri abawambibwa nga 25/06/2018 nga ba Gordon Galiwango ow’e Nakinyuguzi zone mu Makindye nga kuno kuliko Nsubuga Herman 8, ne Zalwango Christine 5, nga bonna bayizi ba Mirembe P/s Nakinyuguzi.

Eyabawamba kigambibwa nti yali abamanyi kuba yagenda mu maka gaabwe era nayanirizibwa Maama w’abaana bano wabula ate oluvannyuma omukyala ono nabulawo n’abaana naleka akasawo omwali essimu gyebakubangako nga basaba obukadde mukaaga.

Bwebasusse okubanoonya bakubidde Taata w’abaana bano nebamugamba agende ku Kulekaana ku lw’e Salaama naye weyagenze n’abasanga nga kigambibwa nti basuuliddwawo owa Bodaboda naddukirawo.

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okukola omuyiggo ku ani yabadde awambye abaana bano atwalibwe mu mbuga z’amateeka.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Nnabagereka akyalidde abaana abalwadde ba sukaali