Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 533 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Abaana abaali basula ku nguudo balambuddwa

April 11, 2019 · Mubiru Ali

Minisita w’eby’obulamu mu bwakabaka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, akyaddeko mu bifo omukuumirwa abaana abalondeddwa ku nguudo ab’ekitongole kya Dwelling Places. Asookedde Buloba oluvannyuma naagenda e Mutundwe ng’eno alambudde ebisulo, wamu n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa abaana bano.

Bwabadde ayogerako eri abakiikiridde ebitongole eby’enjawulo ebirwanirira eddembe ly’omwana, Oweek Nankindu ategeezezza nti obwakabaka bugenda kukozesa ebika okumalawo ekizibu ky’abaana ku nguudo nga bakubiriza abakulu b’ebika okukubiriza bazzukulu baabwe okufaayo okulabirira abaana baabwe.

Oweek Nankindu avumiridde ekikolwa eky’okukusa abaana nebabatwala nebabakozesa nga abaddu. Agambye nti kino kirina okukoma kubanga kityoboola eddembe ly’omwana.

Mu ngeri yeemu Oweek asabye abantu abagabira abaana b’okunguudo ssente bakikomye kubanga kino kyekiremezza abaana bano ku nguudo.

Obwakabaka bwatta omukago n’ekitongole kya Dwelling Places okulaba engeri gyebayinza okukolagana okukendeeza ku muwendo gw’abaana abali ku nguudo.
Okusinziira ku Oweek Nankindu, abaana abaganda n’aba Karamoja bebasinga ku nguudo okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa.