Abaana 5 bajjiiridde mu nabbambula w’omuliro – Kyankwanzi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ekikangabwa kibuutikidde Famire emu e Kyankwanzi abaana bataano bonna bwebasirikkidde mu nabbambula w’omuliro akutte ennyumba mwebabadde beebase mu kiro ekikeesezza leero.

Entiisa eno egudde ku kyalo Bukwiri ekisangibwa mu ttawuni kkanso y’e Butemba ekiri mu Disitulikiti y’e Kyankwanzi era nga abaana abafudde be; Hassan (12), Kamiat (08), Akram(07), Amuda (05), ne Farid Kakungulu nga bazadde baabwe be ¬†Fahad Kakungulu ne Nalubega Hasifah.

Omusasi waffe Fred Mugema e Kyankwanzi atutegeezezzzanti Taata w’abaana bano agambye nti mu kiseera abaana bano webajjiiridde yabadde agenzeeeko mu ka tawuni okubaako byagulayo songa ne nnyabwe abadde yagenze kuziika e Mbale. Kitalo !!

Share.

Leave A Reply