BREAKING NEWS
MBU: Gym is not for smart wires only, pay attention to your mental health – Chozen Blood urges young men Pulse Uganda: Starlink gets license in Uganda MBU: MP Swengere vows to break from past leaders’ disappointments in Jinja North East News: New Tororo Municipality MP Targets Youth Empowerment in 1st Term East News: TRAGIC! Busitema University Student Found Dead in Suspected Suicide Observer: Fredrick Egonda-Ntende: The chief justice Uganda never had Observer: Uganda Law Society raises constitutional concerns over new chief justice appointment Pulse Uganda: Mao takes credit for modern JLOS Tower, hails new reforms in farewell message

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Abaana 16 Dr. Besigye baasasulira ebisale by’essomero bagobeddwa

Akulira essomero lya Citizen Primary School erisangibwa e Makindye Haruna Mugabo agobye abayizi 16 abaava ku nguudo za Kampala naye nga basasulirwa Dr. Kizza Besigye ebisale by’essomero nga babanjibwa ensimbi eziri mu bukadde bubiri . 

Ekibiina kya FDC wamu ne Dr. Kizza Besigye baasalawo okusasulira abaana bano ebsale byessomero bebaapepereza okuva ku nguudo babeeko kyebakola ekyomugaso bafuuke bannansi aboobuvunaanyizibwa nga bazina amazina wamu n’okukola katemba wabula nga muno temuva sente zibamala kusasula bisale bya ssomero .

Wabula nga ensonda ezimu zigamba nti Haruna Mugabo abaana bano abagobye lwa kiniga okuba nga basasulirwa FDC ERa alayira obutakkiriza baana bano kudda mu ssomero nga tebannasasula  .

Radio Simba eyogeddeko ne amyuka Ssaabawandiisi wa FDC Harold Kaija n’agamba nti ekibiina tekirina nteekateeka esasula bisale bya ssomero naye baayambako wekyetaagisizza , wabula agamba nti Dr. Kizza Besigye mweteefuteefu okuyamba abaana bano wadde nga ataataaganyizibwa .

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply