Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 211 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abaana 10 bebaakafa ekirwadde ekitannategeerekeka – Mubende

July 6, 2017 · Mubiru Ali

Abaana kkumi bebaakatirimbulwa ekirwadde ekitannategeerekeka ekizinze ekyalo ekimu e Mubende nga kati abantu basula bakukunadde nga lumonde mu kikata.

Bano abamalwawo ekirwadde kino batuuze ku kyalo kye Kisombwa ekisangibwa mu ggombolola y’e Kibalinga mu Disitulikiti y’e Mubende.

Ssentebe w’ekyalo kino, Nyansiyo Mande ategeezezza nti abaana bano ababa bakwatiddwa ekirwadde kino baba n’omuliro mungi ddala mu mubiri era nga bafa oluvannyuma lw’essaawa omusanvu oba omwenda .

Nyansiyo annyonnyodde nti ekirwadde kino kisinze kutawaanya abaana abali wakati w’emyaka ebiri okutuuka ku kkumi era nga mubbanga ery’emyezi ebiri, abaana kkumi beebaakafa mu ngeri etategeerekeka.