Breaking
News: Bannayuganda abawulira nti Uganda teriimu mirembe mugifulume – Krina Styla News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 97 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Abaami b’Amagombolola abaggya batuuziddwa mu butongole

November 1, 2021 · Mubiru Ali
Abaami b’Amagombolola abaggya okuli Mutuba II Kakiri, Mutuba 1 Masuliita, Musaale Ssisa, Mutuba V Entebbe, mu Ssaza Busiro batuuziddwa mu butongole mu buweereza buno.
Oweek Kangaawo Ronald Mulondo, Katambala Oweek Hajji Sulaiman Magala, ne Kaggo Oweek Agnes Nakibirige Ssempa bebatuuzizza abaami bano mu bifo byabwe.
Omukolo gwa leero ogw’okutuuza omwami w’egombolola ya Mutuba V Entebbe gukoleddwa Kaggo Oweek Agnes Nakibirige Ssempa ku kitebe kya Division ye Entebbe e Entebbe.