Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 173 listening Simba FM Live

Abaali mu motoka eyatomera owa Traffic kwaliko owa Poliisi

May 28, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga Ddereeva w’emotoka nnamba UAS 597U RAV 4 eyatomera omusirikale wa Traffic Police Constable Ayesigye Innocent eyafa oluvannyuma bweyali evugibwa Chief Magistrate.
Okusinziira ku katambi ka Kkamera enkettabikolwa wamu n’ekifaananyi ekyakubwa omuntu eyaliwo kiraga nga abaali mu motoka baali bakuumwa Omusirikale wa Poliisi eyali mu kyambalo ekya kkaki.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala Metropolitan Police agamba nti abaali mu motoka kuliko Aminsi Zimbe wamu ne Police Constable Oduku Alex.
Okusinziira ku amyuuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire agamba nti RAV 4 yatomera Ayesigye nemukasuka ku motoka ekika kya Ford Ranger nga ya Blue nnamba UBG 896E eyali eva mu maaso.