Breaking
News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe. News: Egimu ku mirimu gyOmubaka wa Palamenti egirambikibwa Ssemateeka kwekuli okukiirira abantu, okuyisa amateeka, okulondoola wamu nokutematema News: Omubiri gweyali omukozi wa Radio Simba Ffemwe Mweffe Alex Edward Ssaava Nsubuga Kigoonya Mukulu amanyiddwa ennyo nga Alex Mukulu aka Kalekyeezi
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 326 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abaagalana e Kabale abewambye Poliisi ebakutte

July 29, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi mu Disitulikiti y’e Kabaale ekutte omuweereza era nga Munnamawulire wa Peak FM Obadia Twinomuhwezi 25, ne muganzi we Susan Katushabe 22, nga mukozi w’ekitongole ky’amazzi ekya National Water and Sewerage Corporation lwakudyekadyeka bantu nti babadde bawambiddwa.
Poliisi egamba nti ababiri bano bonna batuuze mu Rwakaraba Zone mu Kabale Municipality, era nga 26, July – 2019 Susan yabulawo mu maka ga bakadde be natandika okukubira Maama we ne Taata we nga abagamba baweereze obukadde buna n’ekitundu asobole okuteebwa abantu abamuwambye.
Ono yagambye bazadde be nti akozesa essimu ye kuba abamuwambye bamulagidde gy’aba akozesa.
Poliisi yatandise okumunoonya ku ssimu ye era nemusanga mu muzigo gwa muganzi we nga bekwese.