Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abaagala obwa Pulezidenti batandise okukima empapula okuva ku EC

Akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission Uganda katandise okuwa abegwanyiza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti empapula ez’okusembebwa wamu n’ebiragiro ebirina okugobererwa mu Kalulu k’obwa Pulezidenti 2021 nga batandise nga 10 – August – 2020.
Abakakima empapula kuliko; Matsiko Dan (Independent), Bbaale Charles owa Ecological Party of Uganda (EPU), Rugaba Christopher (Independent), Mwesigye Fred (Independent), Maj. (Rtd) Mwambazi Joseph (Independent), Nuwasima Harold, Kitsa Bunnet Eric, Katumba John, Isingoma Joshua Mugisa and Akileng Bob, bonna ba Independent.
Abagyeeyo leero kuliko; Hon. Kyagulanyi Sentamu Robert aka Bobi Wine National Unity Platform, Mr. Nkangabwa John Herbert, Ms. Lugudde Katwe Elizabeth, Dr. Ssekimpi Joel, Mr. Kafeero Charles Mutasa, Mr. Niyonzima Edward, Mr. Godwin Ssempebwa Batuwadde, Mr. Ainebyoona Auna ne Mr. Ebetu Simon.
Bano baweereddwa empapula ezirina okujuzibwa abawagizi nebateekako n’emikono nga bano balina okuba nga tebakka wansi w’abantu 100 nga bewandiisa lwakiri mu bitundu bibiri bya kusatu (2/3) mu Disitulikiti zonna eza Yuganda.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort