Breaking
News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High News: Nga 22 January 2027 ku Sheraton Gardens mu Kampala Omulangira Ndausi ategese ekivvulu kwagenda okujaguliza emyaka 35 mu media. Tubeeyo tumuwagire.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 368 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abaagala obumyuka bwa Sipiika bwa Palamenti baweze 9

April 28, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka Nsereko Muhammad akiikirira amasekkati ga Kampala wamu n’owa Ndorwa East David Bahati beegasse ku balala omusanvu okuvuganya ku amyuka omukubiriza wa Palamenti. 

Bahati aggyeyo empapula z’okuvuganya ku kifo kino mu kakiiko ka NRM akeebyokulonda enkya ya leero ezimukwasiddwa Ssentebe w’akakiiko kano Dr. Tanga Odoi ku ssaawa nga ttaano .

Mukwogerako ne Bannamawulire , Bahati agamba nti alina obumanyirivu obumala mu bya mateeka okwo kwogatta n’obuwagizi bwalina okuva eri babaka banne .

Ayongerako nti obumanyirivu bwalina nga omumyuka wa Ssenetebe w’ababaka ba NRM mu Palamenti, obuwanika nga kwogasse n’obumyuka bwa Nampala w’ababaka ba NRM n’obuweereza obulala kimala okuzitoya obukulembeze bwe .

Wabula ye Dr. Tanga Odoi asiimye obutasabirawo kalulu kyere ng’ababaka abalala era n’amusaba agumiikirize okutuusa ku bbalaza nga olukiiko olusunsula lumalirizza omulimu gwalwo .

Mubalala abavuganya ku kifo kino mulimu  ;  Monicah Amoding ,Jovan Kamateeka , Abbas Agaba , Denis Obua , Theodore Ssekikubo, Wilfred Nuagaba ne Jacob Oboth .