Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 1,135 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abaagala ebiwandiiko bya Pulezidenti Museveni munuune ku vvu

September 21, 2020 · Mubiru Ali
Akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission  Uganda kavuddeyo nekategeeza nti empapula z’obuyigirize bwa Pulezidenti

Yoweri Kaguta Museveni zeyakozesa mu kwewandiisa mu 2016 zaali ‘certified’ nga tezetaaga kuddamu kukeberebwa mulundi mulala.
Ekitongole kibadde kyanukula Munnamateeka Muwada Nkunyingi eyavaayo nga 21-August-2020 bweyawandiikira akakiiko nga akasaba empapula z’obuyigirize Pulezidenti Museveni zeyakozesa okwewandiisa mu 2016.
Mulekwa Leonard, akola nga Ssaabawandiisi wa Electoral Commission agamba nti Empapula z’obuyigirize bwa Pulezidenti Museveni zikuumwa akawayiro 4 (15) aka Presidential Elections Act, 2005 (eryakolwamu enongosereza).
Eteeka ligamba nti okwewala okuteekawo okubuusa, singa eyesimbyewo abeera ne satifikeeti ya Siniya eyomukaaga mu Yuganda oba singa abeera n’ebiwandiiko ebisingako ebisabibwa nga yabifunira mu Yuganda oba eyali Yunivasite ya East Africa, Ekitongole kya National Council for Higher Education tekijja kwekeneenya biwandiiko bye.