Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 302 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Aba UPDF bakubye abatuuze e Luweero

May 23, 2019 · Mubiru Ali

Abantu 9 n’abasirikale ba Uganda People’s Defense Forces (UPDF) 2 balumiziddwa mu kavuvungano akabaddewo e Mabuye mu Disitulikiti y’e Luweero.
Kigambibwa nti bano okulwanagana kyadiridde abatuuze okulowooza nti abasirikale ba UPDF ababadde mu kitundu kyabwe babadde babbi ba nte. Abatuuze ababadde babagalidde amajambiya balumbye abasirikale bano ababadde baleeteddwa mu nsozi okutendekebwa okuva mu nkambi y’amaggye e Nakasongola.
Abalumiziddwa kuliko Steven Kuteesa, Ssentebe wa LC 1, Allan Jjumba, Francois Makobero, Vincent Mukumbya, Steven Kiraga, Brian Ssemujju, Muhamadi Masolo, Ronald Kamoga ne Steven Katuluba.
Bo abasirikale ba UPDF abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro ly’amaggye e Nakasongola.
Kuteesa agamba nti abatuuze bamutegeezezza nti waliwo abasajja abalina emmundu abatambula ekiro ku kyalo nga balowoozebwa okubeera ababbi b’ente naye nasitukiramu n’abatuuze abalala okubalumba wabula oluvannyuma n’ebakizuula nti ba UPDF.
Ayongerako nti abasirikale babambudde engoye nebatandika okubakuba emiggo era nga babalese banyiga biwundu yadde nga babegayiridde babasonyiwe.