aba Uganda batteries bawawabidde aba nile batteries

Abaddukanya kkampuni y’omugenzi James Mulwana eya Uganda Batteries Ltd badduse kipayoppayo mu kkooti ne baloopa abanjigirira bbatule zaabwe.
Ekizadde leenya kwe kuba nga Uganda Batteries Ltd esangibwa ku poloti 6/8 ku luguudo lwa Kalitunsi e Bugolobi yawulira olugambo nti waliwo abaakola bbatule ezeefaanaanyirizza ezaabwe kwe kubissaamu engatto ne wabaawo okunoonyereza ne bazuula nti kkampuni ya Nile Batteries Ltd yabakoppa era ekola bbatule ng’ezaabwe.
Ensonga eno bwe balabye ng’esajjuse kwe kugenda mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala ne baloopa Nile Batteries Ltd olw’okujingirira bbatule zaabwe.
Eno bagisabye eteekewo ekiragiro ekibagaana okuddamu okuzikola era mu mpaaba yaabwe bagamba nti mu December wa 1994 baawandiisa erinnya Uganda Batteries Ltd ku nnamba 19267 okuva mu kkampuni ya Uganda Bureau of Standards ku nnamba za pamiti 0739 ne 0740 nga baagala kukasa bakasitoma baabwe nti bbatule ziri ku mutindo mulungi.
Mu October w’omwaka oguwedde Uganda Batteries Ltd bakizuula nti Nile Batteries Ltd bakola bbatule ezeefaanyiriza ezaabwe.
Okugeza engeri gye bassabikamu bbatule, gye bawandiika ennukuta B n’ebirala. Era omulamuzi Anna Mugenyi owa kkooti eno yawadde ekiragiro ky’okugenda ku kkolero lya Nile Batteries Ltd baggyeeyo ezimu ku bbatule zitwalibwa mu kkooti eno ziyambe mu kiseera ky’okuwulira omusango guno.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
2016 Elections: Opposition politicians accuse leaders of lack of focus