Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 268 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Aba Tian Tang bakwatiddwa n’ebyuuma by’enguudo z’eggaali y’omukka

April 1, 2021 · Mubiru Ali
EKKOLERO LYA BA CHINA ERYA TIAN TANG GROUP OF COMPANIES LISANGIDDWA N’EBYUUMA BY’ENGUUDO Z’EGGAALI YOMUKKA EBBIBWA:
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’eggaali y’omukka mu Ggwanga ekya Uganda Railways Corporation kitegeezezza nga bwekyakutte ttani 10,000 ez’ebyuuma byenguudo z’eggali y’omukka nga bino babikwatidde mu Kkolero lyaba China erya Tian Tang Group of Companies erisangibwa e Mbalala Mukono nga abantu 15 bebakwatiddwa okuva e Mbale ku nsonga.
Managing Director wa URC Stanely Ssendegeya agamba nti omuze guno gukolebwa abasinga nsimbi nga bagula ebyuuma bino okuva ku bantu ababibba. Ebyuuma bino ebimanyiddwa nga Railway Slippers ebibibbwa Stanely agamba nti byebiviiriddeko obubenje bw’eggaali y’omukka ensangi zino nga abazigoba baba tebategedde nti ebyuuma byabiddwa.
Stanely agamba nti ebyuuma ebyazuuliddwa ku Tian Tang bibalirirwamu obuwumbi 36.
Ye Financial Officer wa Tian Tang Group of Comapanies Alex yategeezezza nti Bannayuganda tebasaanye kulumwa mutwe olwebyuuma bino kuba Gavumenti ya China eteekateeka okubazimbira oluguudo lw’eggaali y’omukka oluli ku mulembe olusinga luno nga bwekoze mu nsi endala enti era ebyuuma bino bibaguzibwa bazadde baffe.