aba taxi bakubaganye e bwaise

Poliisi y’e Kawempe yakubye amasasi n’omukka ogubalaggala mu baddereeva ba ppaaka ya Ddembe market e Bwaise ababadde bazibye oluguudo nga bawakanya ekya bannaabwe okutandikawo siteegi gye bagamba nti yakimpatiira. Mu kavuvungano, amasasi gakubye babiri okwabadde Samuel Lutaaya ne Abubaker Mugalu ne baddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka!.

Baddereeva bagamba nti baakedde bulungi kyokka kyababuuseko nga waliwo bannaabwe abagguddewo siteegi okumpi n’oluguudo nga bano bazze n’ekibinja ky’abayaaye era olwabagambyeko ne batandika okubakuba emiggo n’amayinja ekyawalirizza Poliisi okukuba amasasi mu bbanga saako omukka ogubalagala okukakkanya embeera.

Baddereeva balumiriza Meeya w’e Kawempe, Dr. Emmanuel Sserunjoji okuba emabega w’obutabanguko buno. Bagamba yaleeta enganda ze okutandikawo siteegi ezikontana n’amateeka.
Wabula Sserunjogi bino byonna abiwakanyizza n’ategeeza nti baddereeva basaanye okwewala okuwubisibwa bannabyabufuuzi abataagala nkulaakulana mu kitundu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
‘Lwaki munyigiriza omuntu wawansi abasasulire omusolo gwa OTT’ – Bobi Wine