Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 206 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

aba taxi abalwanye basindikiddwa ku alimanda

January 10, 2019 · Mubiru Ali

Kkooti y’eddaala erisooka e Kira yasindise ku alimanda ba Ddereeva ba Taxi ne ba kondakita abakwatiddwa mu kwekalakaasa okwabadde ku Siteegi ya Taxi e
Kyaliwajjala okwawaliriza Poliisi okukuba amasasi okukkakanya embeera.
Okulwanagana kuno okwabaddewo ku Mande wakati w’ebiwayi ebibiri okuli ekya Ssentebe wabavuzi ba Taxi mu Kyaliwajjala Julius Wasswa ow’ekibiina kya ”Bridge Union of Taxi Driver’s Association Namugongo Ltd” n’ekya ”Namugongo Kyaliwajjala Drivers and Conductor Co-operative Society Ltd” ekikulemberwa Morgan Kalungi. Obutakkaanaya buno buvudde ku Ssente za Siteegi ezisolozebwa nokuwakanya engeri Wasswa gyaddukanyamu emirimu okukakana nga balwanaganye poliisi n’ekwatako abavuzi ne ba kondakita 17 abagaliddwa ku kitebe kya poliisi e Kira gyebavudde okugenda mu kkooti.